2 Corinthians 8:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ne ku bano tusindikiddeko owooluganda omulala, obujjumbize bwe bwe tugezezza emirundi n'emirundi ne tusanga nga bwa mazima mu ngeri nnyingi; leero kati omujjumbize n'okusingawo olw'obwesige obungi bw'abalinamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era awamu nabo twabatumira owooluganda gwe tukakasizza nga munyiikivu mu bintu bingi era nga ne kaakano munyiikivu nnyo olw’obwesige bw’abalinamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina gye muli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era awamu nabo, tubatumidde owooluganda omulala, gwe tugezezza emirundi emingi, ne tusanga nga munyiikivu mu bintu bingi. Era kaakano yeeyongedde okuba omunyiikivu, kubanga abeesiga nnyo mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tutuma wamu nabo muganda waffe, gwe twakemanga emirundi emingi mu bigambo ebingi nga munyiikivu, naye kaakano munyiikivu nnyo okusingawo, olw'okwesiga okungi kw'alina eri mmwe.