2 Corinthians 8:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Tito ye munnange bwe tukola, annyambako erudda eyo mu mmwe; bo baganda baffe, be babaka Ekleziya be zisindise, kye kitiibwa kya Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa wabaawo ayagala okumanya ebifa ku Tito, tukolagana, mukozi munnange; abooluganda, bo batume ba kkanisa, olw’ekitiibwa kya Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebya Tito ye, assa kimu nange, era ye mukozi munnange mu buweereza bwammwe, era ebya baganda baffe abo, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tito ye, ye mukozi munnange bwe tukola mu kubaweereza mmwe. Era baganda baffe abo, be babaka b'ebibiina by'abakkiriza Kristo, era abaweesa Kristo ekitiibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuntu bw'anaabuuzanga ebya Tito, ye assa ekimu nange era ye mukozi munnange eri mmwe; oba bya baganda baffe, be babaka ab'ekkanisa, abo kye kitiibwa kya Kristo.