2 Corinthians 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe nnyinza okubajulira, baawa okusinziira ku kye basobola, ate ne basussa ne ku busobozi bwabwe, ate nga beeyagalidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tebaagaba kutuuka we basobola wokka, naye nawo baasukkawo, era baagaba lwa kweyagalira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, ntegeeza nti bo, baagaba okusinziira ku busobozi bwabwe, era nkakasa nga baasinzawo, naye nga beeyagalidde bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nkakasa nti baagaba ng'okufuna kwabwe bwe kuli. Naye era baasinzaawo, ate nga beeyagalidde bokka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, ntegeeza bo, baagaba bokka nga bwe baayinza era n'okusinga obuyinza bwabwe,