2 Corinthians 8:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyetwava tusaba Tito nti nga bwe yali atandiseeko, omulimu guno ogw'ekisa agumalirize mu mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyatugwanira okusaba Tito, nga bwe yasooka okubaweereza, ajje atuukirize n’ekikolwa ekyo eky’ekisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyetwava tusaba Tito, nga bwe yatandika edda omulimu ogwo ogw'ekisa, ajje agumalirize ne mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kyetwava tusaba Tito eyatandika omulimu ogwo ogw'ekisa ajje agumalirize ne mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetwava tubuulirira Tito, nga bwe yatanula edda, era bw'atyo alyoke akituukirize era n'ekisa ekyo gye muli.