2 Corinthians 8:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nga bwe musinga mu buli kintu: mu kukkiriza, mu kwogera, mu kumanya, mu kujjumbira okwa buli ngeri, ne mu kutwagala, mulabe nga ne mu kino nno eky'okugaba mmwe musinga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nga bwe musukirira mu bintu byonna, mu kukkiriza, ne mu kigambo, ne mu kutegeera, ne mu kunyiikira kwonna, twagala okulaba nga ne mu kisa kino musukirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe gyetuli, era musukkirirenga ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza ne mu kwogera ne mu kumanya ne mu kunyiikirira byonna era ne mu kutwagala, twagala musukkirire ne mu mulimu guno ogw'ekisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nga bwe musukkirira mu byonna, mu kukkiriza, ne mu kwogera, ne mu kutegeera, ne mu kufuba kwonna, ne mu kwagala kwammwe eri ffe, era musukkirirenga ne mu kisa ekyo.