2 Corinthians 8:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti mumanyi omutima omugabi ogwa Mukama waffe Yezu Kristu, nti ye yali mugagga, naye yeefuula omwavu olw'okubeera mmwe, olw'obwavu bwe mulyoke mufuuke abagagga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo nga bwe yafuka omwavu ku lwammwe, mwe mulyoke mugaggawale.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo. Mumanyi nti newaakubadde nga yali mugagga, kyokka yafuuka mwavu ku lwammwe, mmwe mulyoke mugaggawale olw'obwavu bwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mutegeera ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, nti bwe yali omugagga, naye n'afuuka omwavu ku lwammwe, obwavu bwe bulyoke bubagaggawaze mmwe.