2 Corinthians 9:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kugaggawazibwa mu buli kintu musobole okugaba; ebyo binaayitanga ku ffe ne bifuuka okwebaza Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Anaabagaggawazanga mu buli kintu, ekyebazisa Katonda mu ffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Munnagaggawazibwa mu byonna ne mugaba nnyo, okuyita mu ffe Katonda yeebazibwenga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anaabagaggawazanga mu byonna ne mugaba nnyo, abantu balyoke beebazenga Katonda olw'ebyo bye tukoze.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga mugaggawazibwa mu byonna mukolenga obugabi bwonna, obwebazisa Katonda mu ffe.