2 Corinthians 9:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga okukola omulimu guno tekugasa kufunira batuukirivu bibabulako kyokka, naye era kwongera abantu okwebaza Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga omulimu gw’obuweereza buno tegukoma ku kuyamba batukuvu abali mu kwetaaga kyokka, kusukkirira mu kwebaza okungi eri Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda:
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okukola omulimu guno tekukoma ku kuyamba bantu ba Katonda kyokka, naye era kwongera okuleetera abantu okwebaza ennyo Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okugaba okw'okuweereza okwo tekujjula bujjuzi ekigera ky'ebyo abatukuvu bye beetaaga, era naye kusukkirira olw'okwebaza okungi eri Katonda;