2 Corinthians 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okulaba kye mukoze ekyo, bajja kutendereza Katonda nga balabye bwe mukkiriza ne mwatula Evangili ya Kristu, n'engeri gye mulumiddwa omutima ne mubayamba, bo n'abalala bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’obukakafu obuvudde mu buweereza obwo, Katonda agulumizibwa olw’okugonda okw’okwatula kwammwe eri Enjiri ya Kristo, ne mu kugaba kwe mwalaga mu bye mwabawa, n’eri abantu bonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda kwammwe n'okukkiriza Enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bwammwe gyebali n'eri abalala bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kye mukola kikakasa okukkiriza kwammwe, era kireetera abantu okuwa Katonda ekitiibwa, si lwa kukkiriza Amawulire Amalungi kyokka, wabula era mugagondera, ne mubawa ku byammwe era ne muwa n'abalala bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga olw'okukemebwa kwammwe mu kuweereza kuno batendereza Katonda olw'okugonda okw'okwatula kwammwe eri enjiri ya Kristo, n'olw'obugabi bw'okugabana kwammwe eri bo n'eri bonna;