2 Corinthians 9:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'essaala zaabwe ku lwammwe ziryoleka nga bwe babaagala olw'eneema empitirivu Katonda gy'abawadde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’okubasabira kwe babasabira kubanga babaagala nnyo olw’ekisa kya Katonda eky’ekitalo kye mulina;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era bo bokka nga babalumirwa mmwe n'okubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'engeri gye babasabiramu eri Katonda, eraga nga bwe babaagala ennyo, kubanga Katonda yabakwatirwa mmwe ekisa ekitasangikasangika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era bo bokka nga balumirwa mmwe emyoyo mu kubasabira olw'ekisa kya Katonda ekitasingika mu mmwe: