2 Corinthians 9:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga mmanyi bwe mukyagala; era ku kino mbadde mbatenda mu bantu b'omu Masedoniya, nga mbagamba nti Akayiya yo neetegefu n'okuva mu mwaka guli. Entakabana gye mutakabanyeemu ekakamudde bangi ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga mmanyi nga bwe mwagala ennyo okuyamba, ne mikwano gyaffe wano mu Makedoniya nabategeezaako nga nnenyumiriza ku lwammwe nti ab’omu Akaya babadde beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita, era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmanyi nga muli beetegefu okuyamba, ekyo kye mbeenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga mbagamba nti, “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bwakubiriza bangi mu bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmanyi nti muli beetegefu okuyamba, era kindeetera okwenyumiriza eri ab'omu Makedooniya, nga mbagamba bo nti: “Ab'omu Akaya beetegefu okuviira ddala mu mwaka ogwayita.” Era obumalirivu bwammwe bukubirizza bangi mu bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga mmanyi okwagala kwammwe, kwe nneenyumiririzaamu eri ab'e Makedoni ku lwammwe, nga Akaya yaakamala omwaka gumu okweteekateeka; n'okunyiikira kwammwe kwakubiriza bangi mu bo.