2 Corinthians 9:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ntumye abooluganda okwenyumiriza kwaffe kwe tubeenyumirizaamu kuleme kubeera kwa busa mu kintu kino. Nammwe mubeere beetegefu nga bwe nagamba,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabatumira abooluganda okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere mu nsonga eyo, mube beetegefu nga bwe nagamba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ntuma ab'oluganda, gye muli okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; wabula mube beetegefu nga bwe njogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mmwe mbatumidde, abooluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme kuba kwa bwereere, wabula mube beetegefu nga bwe nagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ntuma ab'oluganda, okwenyumiriza kwaffe ku lwammwe kuleme okuba okw'obwereere mu kigambo ekyo; nga bwe njogedde, mulyoke mweteeketeeke: