2 Corinthians 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda ayinza okubawa buli mukisa gwonna mu buyitirivu, mulyoke bulijjo mubeere na byonna ebibamala, era musobole okuwa mu buyitirvu eby'okukola emirimo emirala gyonna emirungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli, bulijjo mubeerenga n’ebibamala byonna mu buli kintu nga musukkirira mu mulimu gwonna omulungi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli; mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era Katonda ayinza okubawa ebyo ebisinga ku bye mwetaaga, mulyoke mube na bingi bulijjo, era mugabe bingi olwa buli mulimu omulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Katonda ayinza okwaza ekisa kyonna gye muli mmwe nga mulina ebibamala byonna ennaku zonna mu bigambo byonna mulyoke musukkirirenga mu bikolwa byonna ebirungi: