2 John 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eneema, okusaasira n'emirembe bya kubeera naffe okuva ewa Katonda Kitaffe n'ewa Yezu Kristu, Omwana wa Taata, mu mazima ne mu kwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekisa, n’okusaasira n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe bijjanga kubeera naffe mu mazima ne mu kwagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisa, okusaasira, n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe oyo, batukwatirwenga ekisa, batusaasirenga, era batuwenga emirembe mu mazima ne mu kwagala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekisa, okusaasira, emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n'eri Yesu Kristo Omwana wa Kitaffe, binaabeeranga naffe mu mazima n'okwagala.