2 John 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno, Mukyala, nkwegayiridde, weewaawo sikuwandiikira kiragiro kiggya, wabula kiri kye twafuna okuviira ddala mu masooka, nti twagalanenga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nnyabo kaakano nkusaba nga siri ng’akuwa ekiragiro ekiggya, naye nkujjukiza ekiragiro ekyo Katonda kye yatuwa okuva ku lubereberye nti, “Twagalanenga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kaakano, nkwegayirira, Nnyabo, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya, wabula ekyo kye twalina okuviira ddala olubereberye, nti twagalanenga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano nkwegayirira, omukyala, si ng'akuwandiikira ekiragiro ekiggya wabula kye twalina okuva ku lubereberye, twagalanenga fekka na fekka.