2 John 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kuno kwe kwagala, nti tutambulira mu biragiro bye; ekiragiro nga bwe mwakiwulira okuviira ddala mu masooka kye kino, nti mutambulirenga mu kwagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era kuno kwe kwagalana nti tugonderenga ebiragiro bya Katonda. Kubanga okuva ku lubereberye twategeezebwa nga bwe tuteekwa okutambula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okwagala kitegeeza kugobereranga biragiro bya Katonda. Ekiragiro ekyo, nga bwe mwakiwulira okuviira ddala olubereberye, kye kino nti mwagalanenga bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Na kuno kwe kwagala okutambuliranga mu biragiro bye. Ekyo kye kiragiro, nga bwe mwawulira okuva ku lubereberye mulyoke mukitambulirengamu.