2 John 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abalimba bangi abalabise mu nsi, abantu abatakkiriza nga Yezu yajjira mu mubiri. Ow'engeri eyo ye mulimba era omulabe wa Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mwekuume, abalimba bangi mu nsi abatakkiriza nti Yesu yayambala omubiri. Buli muntu ayogera bw’atyo mulimba era mulabe wa Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalimbalimba bangi abaasaasaana mu nsi. B'ebo abatakkiriza nti Yesu Kristo yajja ng'alina omubiri. Omuntu ali ng'abo, mulimba, era mulabe wa Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga abalimbalimba bangi abafuluma mu nsi, abatayatula Yesu Kristo ng'ajja mu mubiri. Oyo ye mulimbalimba oli era omulabe oli owa Kristo.