2 John 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli yenna agenda atyo n'atanywerera ku njigiriza ya Kristu talina Katonda; anywerera ku njigiriza, oyo alina Taata ne Mwana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Buli asukka ku ebyo Kristo by’ayigiriza n’atabinywereramu, talina Katonda; naye oyo anywerera mu kuyigiriza okwo alina Kitaffe n’Omwana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda, abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli muntu asukka ku ebyo Kristo by'ayigiriza, era atabinywererako, talina Katonda. Oyo abinywererako, alina Kitaffe ne Mwana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Buli muntu ayitirira n'atabeera mu kuyigiriza kwa Kristo talina Katonda: abeera mu kuyigiriza okwo, oyo alina Kitaffe era n'Omwana.