2 Kings 1:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'ayanukula omugabe w'amakumi ataano nti: “Oba ndi muntu wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukusenkenye ggwe n'abasajja bo amakumi ataano.” Omuliro ne guva mu ggulu ne gumusenkenya n'abasajja be amakumi ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’addamu omukulu w’ekibinja nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo!” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami wa ataano (50) nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'addamu omukungu oyo akulira abasajja ataano nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ne gumutta, ye ne basajja be amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'addamu n'agamba omwami w'ataano nti Oba ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.