2 Kings 1:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'atuma ewa Eliya omugabe omulala ow'amakumi ataano n'abasajja be amakumi ataano. Omugabe n'agamba Eliya nti: “Muntu wa Katonda, kabaka kino ky'agambye: ‘Serengeta mangu.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka bwe yawulira ebyo n’atuma omukulu omulala n’ekibinja kye eky’amakumi ataano eri Eriya. Omukulu oyo eyatumibwa n’agamba Eriya nti, “Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akuyita mangu.”p
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atuma nate gy'ali omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Yanguwa okuserengeta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka n'atuma omukungu omulala akulira abasajja amakumi ataano ne basajja be amakumi ataano okuleeta Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'agamba Eliya nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo mangu.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atuma nate gy'ali omwami w'ataano omulala n'abasajja be ataano. N'addamu n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, bw'atyo kabaka bw'ayogedde nti Yanguwa okuserengeta.