2 Kings 1:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eliya n'ayanukula nti: “Obanga ndi muntu wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukusenkenye ggwe n'abasajja bo amakumi ataano.” Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumusenkenya n'abasajja be amakumi ataano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’amuddamu nti, “Obanga ndi musajja wa Katonda, kale omuliro guve mu ggulu gukwokye ggwe n’ekibinja kyo.” Awo omuliro ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n’ekibinja kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano (50). Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano (50).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eliya n'abaddamu nti: “Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gukwokye gukutte, ggwe ne basajja bo amakumi ataano.” Katonda n'asindika omuliro okuva mu ggulu, ne gwokya omukungu oyo ne gumutta, ne basajja be amakumi ataano.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Eriya n'addamu n'abagamba nti Oba nga ndi musajja wa Katonda, omuliro guve mu ggulu gwokye ggwe n'abasajja bo ataano. Omuliro gwa Katonda ne guva mu ggulu ne gumwokya ye n'abasajja be ataano.