2 Kings 1:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era Kabaka n'atuma omugabe omulala ow'amakumi ataano owookusatu n'abasajja be amakumi ataano. Omugabe ow'amakumi ataano n'agenda; bwe yatuuka n'agwa ku maviivi mu maaso g'Eliya, n'amwegayirira nti: “Muntu wa Katonda, saasira obulamu bwange n'obulamu bw'abaweereza bo abali nange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kabaka teyakoma ku abo, n’amutumira omukulu owookusatu ow’ekibinja ekirala eky’amakumi ataano, n’agenda eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya n’afukamira mu maaso ge, n’amwegayirira ng’agamba nti, “Omusajja wa Katonda nkwegayiridde, onsasire, nneme okufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'atuma nate omwami wa ataano (50) omulala n'abasajja be ataano (50). Omwami wa ataano (50) ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano (50) abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka era n'atuma omukungu omulala ne basajja be amakumi ataano b'akulira. Omukungu oyo owookusatu akulira abasajja amakumi ataano, n'ayambuka ku lusozi, n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eliya, n'amwegayirira ng'agamba nti: “Ayi ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde otukwatirwe ekisa, nze n'abaweereza bo bano amakumi ataano, owonye obulamu bwaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'atuma nate omwami w'ataano abalala n'abasajja be ataano. Omwami w'ataano ow'okusatu n'ayambuka n'ajja n'afukamira ku maviivi ge mu maaso ga Eriya, n'amwegayirira n'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, nkwegayiridde, obulamu bwange n'obulamu bwa bano ataano abaddu bo bube bwa muwendo mungi mu maaso go.