2 Kings 1:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wuuno omuliro guvudde mu ggulu ne gusenkenya abagabe abasoose ababiri ab'amakumi ataano n'abasajja baabwe amakumi ataano; naye kati nkwegayiridde, saasira obulamu bwange.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abakulu bombi n’ebibinja byabwe, naye kaakano osaasire obulamu bwange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami ba ataano (50) bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano (50), naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya era ne gutta abakungu bombi abakulira abasajja amakumi ataano ataano abaasoose, wamu ne basajja baabwe. Naye kaakano, nsaba owonye obulamu bwange.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, omuliro gwavudde mu ggulu ne gwokya abaami b'ataano bombi abaasoose n'abasajja baabwe ataano: naye kaakano obulamu bwange bube bwa muwendo mungi mu maaso go.