2 Kings 1:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Malayika w'Omukama n'agamba Eliya nti: “Serengeta naye, tomutya.” Eliya n'asituka n'aserengeta naye ewa kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo malayika wa Mukama n’agamba Eriya nti, “Serengeta naye, so tomutya.” Awo Eriya n’asituka n’aserengeta n’omubaka wa kabaka eri kabaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye: tomutya. N'asituka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo malayika wa Mukama n'agamba Eliya nti: “Serengeta wamu naye, tomutya.” Eliya n'asituka n'aserengeta wamu n'omukungu, n'agenda eri Kabaka,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo malayika wa Mukama n'agamba Eriya nti Serengeta naye tomutya. N'agolokoka n'aserengeta naye n'agenda eri kabaka.