2 Kings 1:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba kabaka nti: “Omukama kino ky'agamba: ‘Kyovudde osindika ababaka okwebuuza ku Baali-Zebubu lubaale w'e Ekuroni lwa kubeera nga mu Yisirayeli temuli Katonda gw'osobola kwebuuzaako kigambo? Kale nno ku ndiri kw'ogalamidde tojja kuvaako, wabula oli wa kufa.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eriya n’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Nsonga ki eyakutwala eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, mu kifo ky’okulaga eri Katonda wa Isirayiri ne gw’oba weebuuzako?’ Ky’oliva olema okuva ku kitanda ekyo kye weebaseeko, era ojja kufa.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amugamba nti Mukama agamba nti Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, ng'awatali katonda mu Isiraeri, tojja kuva ku kitanda kyogalamidde ko, ojja kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'amugamba nti: “Mukama agamba nti: ‘Nga bwe watuma ababaka okwebuuza ku Baalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, ng'awatali Katonda mu Yisirayeli, tojja kuva ku ndiri gy'oliko, naye oli wa kufa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga watuma ababaka okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni, kubanga tewali katonda mu Isiraeri okulagulwa eri ekigambo kye kyewava okola bw'otyo? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.