2 Kings 1:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'afa, ng'ekigambo ky'Omukama bwe kyali kigambye Eliya kye yali ayogedde. Kubanga teyalina mwana, muganda we Yoramu n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yoramu mutabani wa Yosafati kabaka wa Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’afa, ng’ekigambo kya Mukama kye yatuma Eriya bwe kyali. Olwokubanga Akaziya teyalina mwana wabulenzi, Yekolaamu n’amusikira okuba kabaka, mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati eyali kabaka wa Yuda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akaziya n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera nga ayita mu Eriya. Olw'okuba nga Akaziya teyalina mwana wa bulenzi, Yekolaamu muganda we n'atandika okufuga mu kifo kye mu mwaka ogwokubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahaaziya n'akisa omukono, nga Mukama bwe yagamba ng'ayita mu Eliya. Ahaaziya teyalina mwana wa bulenzi, muganda we Yehoraamu n'amusikira ku bwakabaka, mu mwaka ogwokubiri ogw'obufuzi bwa Yehoraamu mutabani wa Yehosafaati kabaka wa Buyudaaya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'afa ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali Eriya kye yayogera. Yekolaamu n'atanula okufuga mu kifo kye mu mwaka ogw'okubiri ogwa Yekolaamu mutabani wa Yekosafaati kabaka wa Yuda; kubanga teyalina mwana wa bulenzi.