2 Kings 1:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akaziya yali ayise mu ddirisa n'agwa okuva mu kisenge ekya waggulu eky'ennyumba ye gye yali alina mu Samariya, n'afuna obuvune. Kwe kutuma ababaka ng'abagambye nti: “Mugende, mwebuuze ku Baali-Zebubu lubaale w'e Ekuroni oba nnaasobola okuvvuunuka obulwadde buno.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Akaziya ng’ali mu Samaliya y’asimatuka n’ayita mu ddirisa ly’ekisenge kye ekya waggulu, n’agwa, n’alwala. Awo n’atuma ababaka eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni, okubeebuuzaako obanga obulwadde bwe buliwona.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka Akaziya owa Isiraeri, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samaliya n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti, Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka Ahaaziya owa Yisirayeli, n'awanuka ku lubalaza olwawaggulu, ku nnyumba ye eyaakalina mu lubiri lwe e Samariya, n'agwa wansi, n'alumizibwa nnyo. N'atuma ababaka, n'abagamba nti: “Mugende mwebuuze ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni, oba nga nnaawona ebisago bino.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akaziya n'agwa mu kituli ekiruke ekyali mu kisenge kye ekya waggulu ekyali mu Samaliya, n'alwala: n'atuma ababaka, n'abagamba nti Mugende mulagulwe eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni oba nga ndiwona endwadde eno.