2 Kings 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye malayika w'Omukama n'agamba Eliya Omutisube nti: “Genda osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samariya, obagambe nti: ‘Mu Yisirayeli temuli Katonda ekibatwala okwebuuza ku lubaale w'e Ekuroni?’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Malayika wa Mukama n’ajja eri Eriya Omutisubi n’amugamba nti, “Golokoka, ogende osisinkane ababaka ba kabaka w’e Samaliya, obabuuze nti, ‘Teri Katonda mu Isirayiri, kyemuvudde mugenda mwebuuza eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni?’
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye malayika wa Mukama n'agamba Eriya Omutisubi nti Golokoka osisinkane ababaka ba kabaka w'e Samaliya obagambe nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyemuva mugenda okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye malayika wa Mukama n'agamba Eliya Omutisubi nti: “Situka ogende osisinkane ababaka ba Kabaka w'e Samariya, obagambe nti: ‘Mugenda okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli?’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)