2 Kings 1:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama kino ky'agamba: ‘Endiri eyo kw'ogalamidde tojja kugivaako kubanga oli wa kufa.’ ” Eliya n'agenda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama nti, toliwona bulwadde bwo, naye ogenda kufa.” Eriya bwe yamala okwogera ebyo n’agenda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Tojja kuva ku kitanda kwe we basse, oja kufa. Eriya n'agenda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mugambe Kabaka nti Mukama agamba nti: ‘Tojja kuva ku ndiri gy'oliko, Oli wa kufa.’ ” Eliya n'agenda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno, bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Toliva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa. Eriya n'agenda.