2 Kings 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bamwanukula nti: “Omusajja atusisinkanye n'atugamba nti: ‘Mugende, muddeeyo ewa kabaka abatumye, mumugambe nti: “Omukama kino ky'agamba: Mu Yisirayeli temuli Katonda, ky'ovudde otuma ababaka okwebuuza ku Baali-Zebubu lubaale w'e Ekuroni? Kale nno ku ndiri kw'ogalamidde tojja kuvaako, kubanga oli wa kufa.” ’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Waliwo omusajja eyatusisinkanye mu kkubo n’atugamba nti, ‘Muddeyo eri kabaka mumugambe nti olw’okugenda eri Baaluzebubi bakatonda b’e Ekuloni okulagulwa, n’otogenda kwebuuza ku Katonda wa Isirayiri, togenda kuva ku kitanda ekyo era togenda kuwona bulwadde obwo wabula ogenda kufa.’ ”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti Waliwo omusajja azze n'atusisinkana n'atugamba nti Muddeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? Kyonoova olema okuva ku kitanda kwe we base, ojja kufa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Omusajja azze n'atusisinkana, n'atugamba nti: ‘Muddeeyo eri Kabaka abatumye, mumugambe nti Mukama agamba nti otumye okwebuuza ku Bbaalizebuubu lubaale ow'e Ekurooni kubanga tewali Katonda mu Yisirayeli? Kale nno tojja kuva ku ndiri gy'oliko. Oli wa kufa.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamugamba nti Wazze omusajja okutusisinkana n'atugamba nti Mugende muddeeyo eri kabaka abatumye, mumugambe nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Kubanga tewali Katonda mu Isiraeri kyova otuma okulagulwa eri Baaluzebubi katonda ow'e Ekuloni? kyoliva olema okuva ku kitanda ky'olinnyeeko, naye tolirema kufa.