2 Kings 1:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bo ne bagamba nti: “Yabadde musajja ng'ayambadde olugoye lwa byoya, nga yeesibye ekimyu kya ddiba mu kiwato.” N'agamba nti: “Ye Eliya Omutisube.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamuddamu nti, “Abadde ayambadde ekyambalo kya bwoya, nga yeesibye n’olukoba lwa bwoya.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo yandiba Eriya Omutisubi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamuddamu nti Musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye. Kabaka n'addamu nti Oyo ye Eriya Omutisubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamuddamu nti: “Abadde musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.” Kabaka n'agamba nti: “Ye Eliya Omutisubi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamuddamu nti Yali musajja wa bwoya bungi, era nga yeesibye olukoba olw'eddiba mu kiwato kye.