2 Kings 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amutumira omugabe ow'amakumi ataano n'abasajja be amakumi ataano. Omugabe n'ayambuka gy'ali; Eliya yali atudde ku ntikko y'olusozi, n'amugamba nti: “Muntu wa Katonda, kabaka akugambye nti: ‘Serengeta.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo kabaka n’atuma omukulu eyali akulira ekibinja ky’abasajja amakumi ataano n’abasajja be eri Eriya. Bwe yatuuka awaali Eriya, yamusanga atudde ku ntikko eya kasozi, n’amugamba nti, “Musajja wa Katonda, kabaka akwetaaga.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo kabaka n'atuma omwami wa ataano (50) n'abasajja be ataano (50). N'agenda eri Eriya, n'amusanga ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'amugamba nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka akulagira nti Serengeta ogende gyali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Kabaka n'atuma omukungu akulira abasajja amakumi ataano, ayambuke ne basajja be ataano, aleete Eliya. Omukungu oyo n'ayambuka, n'asanga Eliya ng'atudde ku ntikko y'olusozi, n'amugamba nti: “Ggwe omusajja wa Katonda, Kabaka alagidde nti: ‘Wanukayo.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo kabaka n'atuma gy'ali omwami w'ataano n'abasajja be ataano. N'ayambuka gy'ali: kale, laba, ng'atudde ku ntikko y'olusozi. N'ayogera naye nti Ggwe omusajja wa Katonda, kabaka ayogedde nti Serengeta.