2 Kings 10:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu Samariya mwalimu abaana nsanvu ab'omu nnyumba ya Akabu. Yewu n'awandiika ebbaluwa n'aziweereza mu Samariya eri abakungu ba Yezureeli, eri abakadde, n'eri abakuza ba batabani ba Akabu. Yali esoma bw'eti:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu Samaliya waaliyo batabani ba Akabu nsanvu. Awo Yeeku n’awandiika amabaluwa n’agaweereza e Samaliya eri abakungu b’e Yezuleeri, n’eri abakadde ab’ekibuga, n’eri abakuza b’abaana ba Akabu. N’awandiika nti,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Akabu yalina abantu nsanvu (70) abasibuka mu ye mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza e Samaliya eri abakulu ba Yezuleeri, Abakadde, n'abo abaleeranga abantu abava mu nnyumba ya Akabu ng'agamba nti
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ahabu yalina batabani be wamu ne bazzukulu be ab'obulenzi nsanvu mu kibuga Samariya. Yeehu n'awandiika ebbaluwa, n'aziweereza mu Samariya, era n'aziwaako abafuzi b'e Yezireeli, abakungu, n'abakuza b'abalangira abasibuka mu Ahabu, ng'agamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Akabu yalina batabani be nsanvu mu Samaliya. Yeeku n'awandiika ebbaluwa n'atumira Samaliya eri abakulu b’e Yezuleeri, be bakadde, n'eri abo abaalera batabani ba Akabu ng'ayogera nti