2 Kings 10:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu bw'atyo n'atta bonna abaali bakyasigaddewo mu Yezureeli ab'ennyumba ya Akabu, abakungu be bonna, mikwano gye ne bakabona, n'atamulekerawo muntu n'omu yawonawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’atyo Yeeku n’atta ab’enju ya Akabu bonna abaali basigaddewo mu Yezuleeri; n’atta n’abakungu be, ne mikwano gye enfirabulago, ne bakabona be, obutalekaawo n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'atyo Yeeku n'atta n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri: abakungu be bonna, mikwano gye ennyo ne bakabona be okutuusa lwe yabamalirawo ddala bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeehu n'atta n'abalala bonna ab'ennyumba ya Ahabu abaali mu Yezireeli n'abakungu ba Ahabu bonna, mikwano gye enfiirabulago, ne bakabona be yateekawo, n'atalekaawo n'omu nga mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'atyo Yeeku n'akuba n'abo abaasigala ku nnyumba ya Akabu mu Yezuleeri n'abakulu be bonna, ne baganzi be ne bakabona be okutuusa lw'ataamulekerawo n'omu eyasigala.