2 Kings 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'asanga ab'oluganda lwa Akaziya kabaka wa Yuda, n'ababuuza nti: “Mmwe b'ani?” Bo ne baanukula nti: “Baganda ba Akaziya; tuserengeta kubuuza ku baana ba kabaka ne nnamasole.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’ababuuza nti, “Mmwe b’ani?” Ne bamuddamu nti, “Tuli baganda ba Akaziya, era tuzze okulamusa abaana ba kabaka n’abaana ba nnamasole.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ababuuza nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole Yezeberi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'asisinkana baganda ba Ahaaziya eyali kabaka wa Buyudaaya, n'ababuuza nti: “Mmwe b'ani?” Ne bamuddamu nti: “Tuli baganda ba Ahaaziya. Tugenda Yezireeli okulamusa ku baana ba kabaka n'abaana ba Nnamasole Yezebeeli.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeeku n'asanga baganda ba Akaziya kabaka wa Yuda, n'ayogera nti Mmwe muli b'ani? Ne bamuddamu nti Tuli baganda ba Akaziya: era tuserengeta okulamusa abaana ba kabaka n'abaana ba nnamasole.