2 Kings 10:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'alagira nti: “Mubakwate nga balamu.” Bwe baamala okubakwata nga balamu, ne babasanjagira kumpi n'ekidiba ky'e Beti-Ekedi, abasajja amakumi ana; teyatalizaawo n'omu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’alagira nti, “Mubakwate.” Ne babakwata, abasajja amakumi ana mu babiri bonna ne babattira kumpi n’obunnya obw’ennyumba gye baasalirangamu endiga ebyoya. N’atalekaawo n’omu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku n'alagira nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja ana mu babiri (42 ), teyalekawo n'omu ku bo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'alagira basajja be nti: “Mubakwate nga balamu!” Ne babakwata, ne babattira ku bunnya bw'ennyumba esalirwamu ebyoya by'endiga. Baali abasajja amakumi ana mu babiri, n'atalekaawo n'omu ku bo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Mubakwate nga balamu. Ne babakwata nga balamu, ne babattira ku bunnya obw'ennyumba ey'okusaliramu ebyoya by'endiga, abasajja amakumi ana mu babiri; so teyafissaawo n'omu ku bo.