2 Kings 10:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yava eyo, n'asanga Yonadabu, mutabani wa Rekabu eyali ajja okumusisinkana. Yamulamusa n'amubuuza nti: “Omutima gwo mwesimbu gye ndi ng'ogwange bwe guli omwesimbu?” Yonadabu n'addamu nti: “Bwe guli.” N'amugamba nti: “Oba bwe guli, mpeereza omukono gwo.” N'agumuweereza. Yewu n'amulinnyisa mu kigaali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Eyo bwe yavaayo, n’asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng’ajja okumusisinkana. Yeeku n’amulamusa, n’amubuuza nti, “Ossa kimu nange, nga nze bwe nzisa ekimu naawe?” Yekonadabu n’addamu nti, “Weewaawo.” Yeeku n’amugamba nti, “Obanga weewaawo, mpa omukono gwo.” N’amuwa omukono gwe, Yeeku n’amulinnyisa gy’ali mu ggaali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku bwe yava awo, n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeeku n'amulamusa n'amugamba nti Ggwe nange tuli ba ndowooza emu? Yekonadabu n'addamu nti Ddala bwe kiri. Yeeku n'agamba nti Oba bwe kiri, kale nkwata mu mukono. Yekonadabu n'amusika mu mukono. Yeeku n'amulinnyisa mu ggaali lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu bwe yava awo, n'asanga Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ng'ajja okumusisinkana. Yeehu n'amulamusa, n'amugamba nti: “Ggwe nange tuli ba ndowooza emu?” Yehonadaabu n'addamu nti: “Ddala bwe kiri.” Yeehu n'agamba nti: “Oba bwe kiri, kale nsika mu mukono.” Yehonadaabu n'amusika mu mukono. Yeehu n'amulinnyisa mu ggaali lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yavaayo n'asanga Yekonadabu mutabani wa Lekabu ng'ajja okumusisinkana: n'amulamusa n'amugamba nti Omutima gwo mulungi ng'omutima gwange bwe guli eri omutima gwo? Yekonadabu n'addamu nti Mulungi. Oba nga mulungi, mpa omukono gwo. N'amuwa omukono gwe; n'amulinnyisa gy'ali mu ggaali.