2 Kings 10:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'amugamba nti: “Jjangu nange, olabe nga bwe ntakabanira Omukama.” N'amutwalako ku kigaali kye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku n’amugamba nti, “Jjangu tugende ffembi olabe obunyiikivu bwange eri Mukama.” Awo n’atambulira wamu naye mu ggaali lye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ayogera nti Jjangu tugende ffembi olabe bwemaliridde okutuukiriza ekigambo kya Mukama. Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'amugamba nti: “Jjangu tugende ffenna, olabe nga bwe nneewaddeyo okutuukiriza ebya Mukama.” Awo ne bagenda bonna mu ggaali lye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ayogera nti Jjangu tugende fembi olabe obuggya bwange olwa Mukama. Awo ne bamulinnyisa mu ggaali lye: