2 Kings 10:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baatuuka mu Samariya, n'atta ab'ennyumba ya Akabu bonna abaali bakyasigadde mu Samariya, n'abasanyaawo, ng'ekigambo ky'Omukama kye yali agambye Eliya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya, n’atta bonna abaali basigaddewo ab’omu nnyumba ya Akabu, n’abazikiriza ng’ekigambo kya Mukama kye yayogera eri Eriya bwe kyali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna ab'omu nnyumba ya Akabu abali basigaddewo nga ekigambo kya Mukama bwe kyali kyeyayogerera mu muddu we Eriya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka e Samariya, Yeehu n'atta ab'ennyumba ya Ahabu bonna abaali bakyasigaddewo mu Samariya, nga Mukama bwe yagamba Eliya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe yatuuka e Samaliya n'atta bonna absigalira Akabu mu Samaliya okutuusa lwe yamuzikiriza ng'ekigambo kya Mukama bwe kyali kye yagamba Eriya.