2 Kings 10:18 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti: “Akabu yagulumiza katono Baali, Yewu ajja kusinzaawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku n’akuŋŋaanya abantu bonna, n’abagamba nti, “Akabu yaweerezaako Baali ebbanga ttono naye Yeeku anaamuweereza okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yasinzanga Baali katono; naye nze nja kumusinza nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Yeehu n'ayita abantu bonna ne bakuŋŋaana, n'abagamba nti: “Ahabu yasinzanga lubaale Baali katono, naye nze nja kumusinza nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'akuŋŋaanya abantu bonna n'abagamba nti Akabu yaweerezanga Baali katono; naye Yeeku anmuweereza nnyo.