2 Kings 10:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno muyite abalanzi ba Baali bonna, abaweereza be ne bakabona be bonna, buli omu ajje gye ndi; tewabulawo n'omu, kubanga ntegese okuweereza Baali ekitambiro ekinene. Buli anaabulawo tajja kulama.” Yewu yali abakolera lukwe ng'ayagala kuzikiriza bonna abaweereza Baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno muyite bannabbi bonna aba Baali, bakabona be bonna, n’abaweereza be bonna, waleme okubulawo n’omu kubanga ŋŋenda okuwaayo ssaddaaka enkulu ennyo eri Baali, ne buli ataabeerewo alittibwa.” Naye okukola ekyo, Yeeku yasala lukwe alyoke azikirize abaasinzanga Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno mumpitire bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye ŋŋenda okuwaayo eri Baali; buli anaabulawo wakuttibwa. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nno mumpitire abalaguzi bonna aba Baali, n'abamusinza bonna, ne bakabona be bonna, waleme kubulawo n'omu, kubanga nnina ekitambiro ekikulu kye ŋŋenda okuwaayo eri Baali. Buli anaabulawo ku bo ajja kuttibwa.” Kyokka Yeehu yakola bw'atyo ng'asala lukwe, alyoke azikirize bonna abaali basinza Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno muyite gye ndi bannabbi bonna aba Baali, abamusinza bonna ne bakabona be bonna; waleme okubulawo n'omu: kubanga nnina ssaddaaka enkulu gye nnaaweereza Baali; buli alibulawo taliba mulamu. Naye Yeeku yakola bw'atyo ng'asala lukwe alyoke azikirize abaasinza Baali.