2 Kings 10:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'atumya wonna mu Yisirayeli, abaweereza ba Baali bonna ne bajja; tewali yasigalayo. Ne bayingira mu kiggwa kya Baali, ne kijjula okuva ku nsonda emu okutuuka ku ndala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’aweereza obubaka okubuna Isirayiri yonna, abaweereza ba Baali bonna ne bajja, n’okusigala n’etasigala muntu n’omu. Ne bakuŋŋaanira mu ssabo lya Baali, ne lijjulira ddala okuva ku luuyi olumu okutuukira ddala ku luuyi olulala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'atumya mu Isiraeri yonna, abasinza Baali: ne bajja ne bayingira mu ssabo lya Baali lyonna ne lijjula.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'atumya mu Yisirayeli yonna, bonna abasinza Baali. Ne bajja, ne watasigalayo n'omu. Ne bayingira mu ssabo lya Baali, lyonna ne lijjula,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Yeeku n'atuma okubunya Isiraeri yonna: abaasinza Baali bonna ne bajja n'okusigala n'etasigala muntu atajja. Ne bajja mu nnyunba ya Baali; ennyumba ya Baali n'ejjula okuva ku mulyango okutuuka ku buziizi.