2 Kings 10:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu yagamba eyali akuuma etterekero ly'ebyambalo nti: “Abaweereza ba Baali bonna baleetere ebyambalo.” N'abaleetera ebyambalo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Yeeku n’agamba eyavunaanyizibwanga ebyambalo byabwe nti, “Leetera abaweereza ba Baali bonna ebyambalo.” Bonna n’abaleetera ebyambalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku n'alagira omukulu w'etterekero ly'ebyambalo nti Bonna abasinza Baali baggyireyo ebyambalo. N'abiggyayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu n'agamba oyo akulira etterekero ly'ebyambalo nti: “Bonna abasinza Baali baggyiireyo ebyambalo.” N'abibaggyirayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agamba omukulu w'ennyumba eyambalirwamu nti Fulumya ebyambalo eri bonna abasinza Baali. N'afulumya ebyambalo eri bo.