2 Kings 10:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yewu n'ayingira mu kiggwa kya Baali wamu ne Yonadabu mutabani wa Rekabu, n'agamba abaweereza ba Baali nti: “Muyiseeyise amaaso mulabe nti temuli muweereza wa Mukama abegasseeko; abaweereza ba Baali be baba babeeramu bokka.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bagenda mu ssabo lya Baali. Yeeku n’agamba abaweereza ba Baali nti, “Mwetegereze nnyo mulabe nga mu mmwe temuliimu muweereza wa Mukama, wabula abasinza Baali bokka.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeeku n'agamba abasinza Baali nti Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yeehu ne Yehonadaabu mutabani wa Rekabu ne bayingira mu ssabo lya Baali, Yeehu n'agamba abasinza Baali nti: “Mwetegereze mulabe nga tewali n'omu mu mmwe wano asinza Mukama, wabula abasinza Baali bokka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Yeeku ne Yekonadabu mutabani wa Lekabu ne bayingira mu nnyumba ya Baali; n'agamba abasinza Baali nti Munoonye mulabe muleme okuba muno nammwe ku baddu ba Mukama, wabula abasinza Baali bokka.