2 Kings 10:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo ne bayingira okuweereza ebitambiro ebyokye n'ebitone. Yewu ebweru yali ategeseeyo abasajja kinaana ng'abagambye nti: “Buli anaaleka omu ku bantu bano be ntadde mu mikono gyammwe n'adduka, obulamu bwe bwe bunaasasulira obw'oli.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n’ebiweebwayo ebyokebwa. Naye Yeeku yali atadde abasajja kinaana ebweru w’essabo, ng’abalabudde nti, “Omuntu yenna anaataako n’omu ku basajja abo be ntadde mu mikono gyammwe, anaaliwa n’obulamu bwe ye.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Yeeku ne Yekonadabu ne bayingira mu ssabo okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa eri Baali. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana (80) ebweru we ssabo nga abalagidde okutta buli mugoberezi wa Baali yenna, nga buli analeka n'omu kubo okutoloka ye yennyini yali wakuttibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo ne bayingira okuwaayo ekitambiro n'ekiweebwayo ekyokebwa nga kiramba. Era Yeehu yali ataddewo abasajja kinaana ebweru w'essabo, ng'abagambye nti: “Oyo anaabaako gw'aleka okutoloka ku bantu be nnaabakwasa mmwe, ye anattibwa mu kifo kye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne bayingira okuwaayo ssaddaaka n'ebiweebwayo ebyokebwa. Era Yeeku yali ataddewo abasajja kinaana ebweru n'ayogera nti Ku basajja be nnaaleeta mu mikono gyammwe bwe kunaabulako n'omu, amuta obulamu bwe bunaaba mu kifo ky'obulamu bw'oyo.