2 Kings 10:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe yamala ati okuweereza ekitambiro ekyokye, Yewu n'alagira abakuumi be n'abagabe ab'oku bigaali nti: “Muyingire mubatte; tewaba avaamu.” Abakuumi n'abagabe ne babassa ebitala ebyogi, ne babakasuka ebweru. Awo ne bayingira mu kisenge eky'omunda mu kiggwa kya Baali.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amangwago bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, n’alagira abaserikale n’abaami nti, “Muyingire mubatte; waleme okuwonawo n’omu.” Bwe baamala okubatta n’ekitala, ne basuula emirambo gyabwe ebweru, ne bayingira munda mu ssabo ekkulu erya Baali.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe bamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abakuumi n'abakungu nti Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka. Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeehu n'agamba abakuumi n'abakungu nti: “Muyingire, mubatte, waleme kubaawo n'omu atoloka.” Ne basowola ebitala ne babatta, emirambo ne bagisuula ebweru. Olwo abakuumi n'abakungu ne bayingira munda ddala mu ssabo lya Baali.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka bwe yamala okuwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, Yeeku n'agamba abambowa n'abaami nti Muyingire mubatte; waleme okufuluma n'omu. Ne babatta n'obwogi bw'ekitala: awo abambowa n'abaami ne babasuula ebweru ne bagenda mu kibuga eky'essabo lya Baali.