2 Kings 10:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo baggyayo empagi mu kiggwa kya Baali ne bagyokya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bafulumya empagi ezaali mu ssabo lya Baali, ne bazookya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo ne baggya ebifaananyi bya Baali ebyalimu ne ba byokya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne baggyamu ebifaananyi bya balubaale ebyalimu ne babyokya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo ne baggya empagi ezaali mu nnyumba ya Baali ne bazookya.