2 Kings 10:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baayasaayasa empagi ya Baali n'ekiggwa kye ne bakyabya, ne bakikolamu ekiyigo ekikyamirwamu; bwe kikyali n'okutuusa ku lunaku lwa leero.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bamenyaamenya empagi ya Baali, ne bamenyaamenya ne ssabo lya Baali, ne balifuula kabuyonjo ne leero.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ne bamenyamenya ekifaananyi kya Baali ne ssabo lye ne baalifuula ekiyigo ne leero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bamenyawo ekifaananyi kya Baali n'essabo lye, we lyali ne bafuulawo ekifo eky'okweteewululizaamu, era bwe kiri n'okutuusa kati.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne bamenyamenya empagi ya Baali ne bamenyamenya essabo lya Baali ne balifuula ekiyigo ne leero.