2 Kings 10:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyokka Yewu teyava ku bibi bya Yerobowamu mutabani wa Nebati bye yaleetera Yisirayeli okugwamu, yadde okuggyawo obuyana obwa zaabu obwali mu Beteli ne mu Daani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye teyaleka kukola ebibi ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, bye yayonoonyesa Isirayiri, ng’okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri ne mu Ddaani.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, ebyaleetera Isiraeri ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'e mu Ddaani.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Wabula naye yakola ebibi ng'ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebaati, ebyaleetera Yisirayeli ekibi eky'okusinza ennyana eza zaabu ezaali mu Beteli ne mu Daani.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye Yeeku teyaleka kugoberera bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri, ennyana eza zaabu ezaali mu Beseri n'ezaali mu Ddaani.