2 Kings 10:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
mulondemu asingamu obulungi n'okusaanira mu baana ba mukama wammwe, mumuteeke ku nnamulondo ya kitaawe. Olwo mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
mulonde ku batabani ba mukama wammwe asinga obulungi, ng’asaanira, mumuteeke ku ntebe ey’obwakabaka eya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale mulonde ku bantu ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya mukama wammwe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
mulabe ku batabani n'abazzukulu ba mukama wammwe abo, omu asinga obulungi n'okusaanira, mumufuule kabaka, mulwanirire ab'ennyumba ya mukama wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
munoonye ku baana ba mukama wammwe asinga obulungi n'okusaana, mumuteeke ku ntebe ya kitaawe, mulwanirire ennyumba ya mukama wammwe.